2 Corinthians 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eyatusaanyiza okubeera abaweereza n'endagaano empya etali ya nnukuta mpandiike, wabula eya Mwoyo; anti ennukuta empandiike ereeta kufa, sso Mwoyo aleeta bulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo ye yatusobozesa okuba abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab'Omwoyo; kubanga ennukuta etta, naye Omwoyo guleeta obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye yatusaanyiza okuba abaweereza b'endagaano empya, eteri ya mateeka mawandiike, naye eya Mwoyo. Amateeka amawandiike galeeta kufa, naye Mwoyo aleeta bulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga ennukuta etta; naye omwoyo guleeta obulamu.