2 Corinthians 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba omulimu oguleeta olumbe, ogwayolebwa ku mayinja mu nnukuta gwalina ekitiibwa ekyenkana awo, nga n'abaana ba Yisirayeli tebasobola kutunuulira Musa mu maaso olw'okutemagana kwago, sso nga kwali kwa kaseera buseera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oba nga okuweereza okw'okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa bwe kityo, n'abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky'amaaso ge; ekyali kigenda okuggwaawo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oba nga Amateeka agaleeta okufa, agaayolebwa mu nnukuta ku bipande eby'amayinja, gaaweebwa mu kitiibwa ekinene, Abayisirayeli ne batayinza na kutunuulira Musa mu maaso olw'okwakaayakana kwago, okwali okw'okuggwaawo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga okuweereza okw’okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaaso ge; ekyali kigenda akuggwaawo: