2 Corinthians 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bulijjo okufa okwa Yezu tuyita nakwo mu mubiri gwaffe, obulamu bwa Yezu busobole okulabikira mu mubiri gwaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bulijjo tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bulijjo buli we tulaga, tugenda n'okufa kwa Yesu mu mibiri gyaffe, obulamu bwe bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bulijjo nga tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe.