2 Corinthians 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga tukyali balamu, bulijjo tugenda tuweebwayo mu kufa olw'okubeera Yezu, obulamu bwa Yezu busobole okulabika mu mubiri gwaffe ogw'okufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nga tuli balamu, naye bulijjo tuba mu kabi ak'okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe egy'okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa.