2 Corinthians 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omwoyo ogw'okukkiriza gwe tulina gwe gumu n'ogw'oyo eyawandiika nti: “Nakkiriza, kyennava njogera,” naffe tukkiriza, kyetuva twogera,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tuba n’omwoyo omu ow’okukkiriza, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Nakkiriza, kyennava njogera,” Era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe tulina omutima ogw'okukkiriza ng'ogw'oyo eyawandiika nti: “Nakkiriza, kyennava njogera,” naffe tukkiriza, era kyetuva twogera
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti Nakkiriza, kyennava njogera era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera;