2 Corinthians 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga tumanyi nti eyazuukiza Omukama Yezu naffe alituzuukiza wamu ne Yezu, n'atutwala wamu nammwe gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tumanyi ng’oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga tumanyi nti oyo eyazuukiza Mukama Yesu, naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, n'atuleeta wamu nammwe mu maaso ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.