2 Corinthians 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna ebyo lwa kubeera mmwe, ennema gy'ekomya okusaasaana n'etuuka ku bangi, gy'eba eyongera n'okwaza okwebaza ku lw'ekitiibwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, n’okwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda n’agulumizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo nga bwe kyeyongera okubuna mu bantu abangi, kyongera okuleeta okwebaza Katonda n'okumuweesa ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byonna biriwo ku lwammwe, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere okubuna mu bantu, nabo beeyongere okwebaza Katonda, n'okumuweesa ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo bwe kyeyongera olw'abangi kiryoke kyongezenga okwebaza Katonda aweebwe ekitiibwa.