2 Corinthians 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyetuva tutaterebuka; kuno kungulu ne bwe tukenena, muli munda tuzzibwa buggya buli lunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe ow'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde ng'obulamu bwaffe obw'omubiri bugenda buseebengerera, naye obulamu bwaffe obw'omwoyo bufuulibwa buggya buli lunaku, kyetuva tulema okuddirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe w'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo.