2 Corinthians 4:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zino ennaku entono ez'akadde kano zitutegekera ettu eritaggwaawo ery'ekitiibwa ekitageraageranyizika,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okubonaabona kuno okutono era okw'akaseera obuseera, kututeekerateekera ekitiibwa ekinene ekitaliggwaawo, era ekitageraageranyizika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe;