2 Corinthians 4:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tetufa ku bino ebirabika, wabula ku biri ebitalabika; anti bino ebirabika biyita buyisi, naye biri ebitalabika tebiggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika, kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso gaffe tetugatadde ku ebyo ebirabika, wabula ku ebyo ebitalabika. Ebyo ebirabika bya kaseera buseera, naye ebyo ebitalabika, bya lubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.