2 Corinthians 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twemansulira ddala empisa eziswaza ez'enkiso; tetuliimu bukujjukujju oba okulimbisa Ekigambo kya Katonda; tweyogerako kyere mu mazima eri buli muntu mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima tuleka buli muntu atulowoozeeko ng'Omwoyo gwe bwe guli mu maaso ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twaleka ebyo ebikolebwa mu nkukutu eby'ensonyi, n'empisa ez'obukuusa, era tetukyamya kigambo kya Katonda, wabula tulaga amazima nga bwe gali, ne tuleka buli muntu ow'omutima omulungi atulowoozeeko nga bw'alaba mu maaso ga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda.