2 Corinthians 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba Evangili yaffe ekyabikkiddwa, ab'okuzikirira b'ebeerera embikke;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era newakubadde ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako eri abo ababula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oba ng'Amawulire Amalungi ge tutegeeza abantu, makweke, abo ab'okuzikirira be gakwekeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okubikkibwako oba ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula: