2 Corinthians 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Katonda eyalagira nti: “Ekitangaala kyake okuva mu kizikiza,” y'oyo eyaleeta ekitangaala mu mitima gyaffe, mwakiremu ekitangaala eky'okumanya ekitiibwa kya Katonda, ekitangalijjira mu maaso ga Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda ye yayogera nti, “Leka omusana gwake mu kizikiza,” eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda eyalagira ekitangaala kyake awabadde ekizikiza, ye yayaka mu mitima gyaffe okuleetera abantu ekitangaala, bamanye ekitiibwa kya Katonda, ekirabikira mu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.