2 Corinthians 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekkula lino tulitwalira mu bibya bya bbumba, kyerage lwatu nti amaanyi amasukkirivu ga Katonda, si gaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ffe abali ng'ebibya eby'ebbumba, ffe tulimu ekyo eky'omuwendo ennyo, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, sso si bwaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe;