2 Corinthians 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tumanyi nga weema yaffe ey'oku nsi gye tulimu bw'erimala okwabizibwa, tulinayo ekisulo ewa Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, eteriggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tumanyi nti, oba ng'ennyumba yaffe ey'ensiisira ey'omu nsi eryabizibwa, tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba etaazimbibwa na mikono, ey'emirembe n'emirembe, ey'omu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tumanyi nti ensiisira yaffe ey'oku nsi, gwe mubiri gwe tulimu, bw'eryabizibwa, Katonda alituwa ennyumba mu ggulu ey'olubeerera, etaazimbibwa bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tumanyi nti, oba ng'ennyumba yaffe ey'ensiisira ey'omu nsi eryabizibwa, tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba etaazimbibwa na mikono, ey'emirenbe n'emirembe, ey'omu ggulu.