2 Corinthians 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffenna tuteekwa okulabika mu maaso g'entebe ya Kristu ey'obulamuzi, buli omu afune empeera ye olw'ebirungi oba ebibi bye yakola mu mubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe ekimusanira okusinziira ku birungi oba ku bibi bye yakola nga akyali mu mubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffenna tuli ba kulabika mu maaso g'entebe ya Kristo kw'asalira emisango, buli omu alyoke aweebwe ekimusaanira, okusinziira ku birungi oba ku bibi bye yakola, ng'akyali mu mubiri guno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.