2 Corinthians 5:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tumanyi okutya Omukama, tusendasenda abantu. Katonda amanyi kye tuli, ndowooza nammwe mukimanyi mu mmeeme yammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olw'ekyo, bwe tumanya okutya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye Katonda amanyi bwe tuli, era nsuubira nga nammwe mumanyi mu myoyo gyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo nga bwe tumanyi nti kituufu okutya Mukama, tugezaako okukkirizisa abantu. Kyokka Katonda amanyi nga bwe tuli, era nsuubira nti nammwe mumanyi mu mitima gyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, bwe tumanya entiisa ya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye tulabisibwa eri Katonda: era nsuubira nga tulabisibwa ne mu myoyo gyammwe.