2 Corinthians 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tetwagala kuddamu kweyogerako gye muli, tubawa buwi kawenda ka kutwenyumirizaamu, musobole okuddamu abo abeetendera mu by'okungulu sso si mu biva mu mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tetwetendereza nate gye muli, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okwenyumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n'eky'okubaddamu abeenyumiriza olw'ebyo ebirabika, so si mu mutima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetuddamu kweyanjula gye muli, naye tubawa kye munaasinziirangako okwenyumiriza ku lwaffe, mulyoke mubenga n'ekyokuddamu abo abeenyumiririza mu byokungulu, sso si mu ebyo eby'omu mutima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tetwetendereza nate eri mmwe, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okwenyumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n'eky'okubaddamu abeenyumiriza mu maaso, so si mu mutima.