2 Corinthians 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti okwagala kwa Kristu kutuwujja, kubanga tukakasa nti oba omu yafa okubeera bonna awo nno abantu bonna baafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okwagala kwa Kristo kwe kutufuga, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era tufugibwa kwagala kwa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okwagala kwa Kristo kutuwaliriza, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa;