2 Corinthians 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyeyava afa okubeera bonna, abantu abalamu baleme kubeera balamu ku lwabwe, wabula ku lw'oyo olw'okubeera bo eyafa n'azuukizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tumanyi nti omu yafiirira bonna, olwo abo abalamu balemenga kuba balamu ku lwabwe, wabula babenga balamu ku lw'oyo eyabafiirira, n'azuukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira.