2 Corinthians 5:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naffe nno n'okuva kati, kyetuva tutabaako gwe tutunuulira mu bwa muntu buntu, newandibadde ng'olumu Kristu twamutunuulirako ng'omuntu obuntu, naye tetwaddamu kumutunuulira tutyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna okusinziira ku ndaba y'obuntu; okumanya newakubadde okusooka twatwala Kristo mu ndaba y'obuntu, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, okuva kaakano tetukyakozesa magezi ga bantu buntu okumanya omuntu. Newaakubadde nga twamanyako Kristo mu ngeri eyo, naye kaakano si bwe tumumanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna mu mubiri: okumanya newakubadde nga twamanya Kristo mu mubiri, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo.