2 Corinthians 5:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno buli yenna ali mu Kristu, afuuse kitonde kiggya; ekitonde ekikadde kiweddewo, kati ekiggya kizze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olw'ekyo omuntu yenna bw'aba mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli eyeegatta awamu ne Kristo, kyava aba muntu muggya: empisa ez'obulamu obw'edda nga ziweddewo, olwo ng'empisa ez'obulamu obuggya zitandise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.