2 Corinthians 5:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kugamba nti Katonda, mu Kristu yali ensi atabagana nayo, ebibi byayo nga takyagibibalira; naffe n'atukwasa obubaka obw'okutabaganya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kwe kugamba nti Katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kwe kugamba nti Katonda yali mu Kristo, ng'atabaganya abantu bonna naye yennyini, nga tabavunaana bibi byabwe, era yatukwasa obubaka obw'okutabaganya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya.