2 Corinthians 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga tukyali mu weema eno, tusinda olw'okuzitoowererwa; si lwa kugamba nti tujja kwambulwa, wabula nti twambazibwe n'okusingawo, kino ekifa kimiribwe obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa, nga tetwagala kusangibwa nga tetwambadde, wabula nga twambadde, omubiri ogufa gumiribwe obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwambula, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuba nga bwe tukyali mu mubiri guno, tusinda nga tuzitoowereddwa, si lwa kuba nti twagala okugwambulwa, wabula twagala kwongera kwambazibwa, olwo ogwo ogufa gulyoke gumiribwe obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwambula, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu.