2 Corinthians 6:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kukola bitajja nga mwambala ekikoligo kimu n'abatakkiriza. Obutuukirivu bwasiba ddi ekinywi n'obubi? Ekitangaala kyassa ddi ekimu n'enzikiza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana; kubanga obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba omusana gussa gutya ekimu n'ekizikiza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwegattanga wamu na batakkiriza, kubanga tekibasaanira mmwe. Kale obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba ekitangaala kitabagana kitya n'ekizikiza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza?