2 Corinthians 6:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiggwa kya Katonda kikkaanya kitya ne balubaale! Kubanga ffe tuli kiggwa kya Katonda omulamu; ne Katonda bw'agamba nti: “Ndibasulamu, ne ntambulanga mu bo, ndibeera Katonda waabwe nabo balibeera bantu bange;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? Kubanga ffe tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti, “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Essinzizo lya Katonda litabagana litya n'ebyo ebitali Katonda? Ffe tuli Ssinzizo lya Katonda Nnannyinibulamu. Nga ye bw'agamba nti: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.