2 Corinthians 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno abantu abo mubaveemu, mweyawuleko, Omukama y'agamba; temukwatanga ku kitali kirongoofu, olwo ndibaaniriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo “muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bw’ayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale ” Muve wakati mubo, mweyawule, bw'ayogera Mukama, So temukwatanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama agamba nti: “N'olwekyo mubaveemu, mwawukane nabo. Era temukwatanga ku kitali kirongoofu, olwo nange ndibaaniriza mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama: So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza.