2 Corinthians 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti agamba nti: “Nakuwulira mu budde obw'omukisa, nakuyamba ku lunaku olw'obulokofu.” Kale nno buno bwe budde obw'omukisa, zino ze nnaku ez'obulokofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga agamba nti, “Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.” Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda agamba nti, “Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba; laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda agamba nti: “Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasirirwamu, ne nkuyamba ku lunaku olw'okulokolerwako.” Laba kaakano kye kiseera eky'okusaasirirwamu, era leero lwe lunaku olw'okulokolerwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi):