2 Corinthians 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu byonna tweraga nga bwe tuli ddala abaweereza ba Katonda: mu bugumiikiriza obw'ekitalo, mu nnaku, mu bwetaavu, mu kweraliikirira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ng'abaweereza ba Katonda, twetendereza mu byonna, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, ne mu nnaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu byonna tulaga nga tuli baweereza ba Katonda, nga tugumiikiriza nnyo mu kubonyaabonyezebwa, mu bitukaluubirira, ne mu kunyolwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku,