2 Corinthians 6:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu kitiibwa ne mu kunyoomebwa, mu kwogerwako obubi ne mu kwogerwako obulungi. Batuyita bakalimbira, sso nga tuli ba mazima;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, olw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa. Tuyitibwa ng'abalimba, naye nga tuli ba mazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu batussaamu ekitiibwa, abalala batugaya. Abamu batwogerako bubi, abalala batwogerako bulungi. Tuyitibwa balimba, sso nga twogera mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, elw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'abalimba, era naye ab'amazima;