2 Corinthians 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne tuba nga be batamanyi, sso nga tumanyiddwa, ne tuba ng'abaafa, sso tuutuno tukyaliwo; ne tuba ng'ababonereze, sso tetuttibwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, naye ne tutattibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuli ng'abatamanyiddwa, sso nga bonna batumanyi. Tuli ng'abafudde, sso nga tuli balamu. Newaakubadde nga tubonerezebwa, naye tetuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutattibwa;