2 Corinthians 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaagalwa, nga bwe tulina ebyatusuubizibwa bino, twetukuzeeko byonna ebyonoona omubiri n'omwoyo, tulafuubanire obutuukirivu obujjuvu mu kutya Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaagalwa nga bwe tulina ebisuubizo ebyo, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagalwa, nga bwe twasuubizibwa ebyo, twetukuze, mu ebyo byonna ebyonoona omubiri, n'ebyonoona omwoyo, tulyoke tubeerere ddala batukuvu abassaamu Katonda ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.