2 Corinthians 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe okunakuwala nga Katonda bw'ayagala bwe kubaleetedde mu bungi okussaako omwoyo, n'okwennyonnyolako, n'okunyiiga, n'okutya, n'okulumirwa omwoyo n'okubonereza. Mu buli kye mukoze mweraze ng'ekigambo temukirinaako musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba okunakuwala okwo Katonda kw’asiima kwabaleetera okwewala bino: okufuba ennyo, n’okwennyonnyolako, n’okusunguwala, n’okutya, n’okwegomba, n’okufuba ennyo okwenenya, n’okuwalana eggwanga. Mwakola kyonna kye musobola okulongoosa ekyasoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba okungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era n'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mulabe okunakuwala okwo Katonda kw'asiima bye kwabaleetera: mwafuba nnyo, mwennyonnyolako, mwasunguwala, mwatya, mwegomba okundaba, mwewaayo eri Katonda, era mweteekateeka okubonereza buli akola ekibi. Mu byonna mweraga nga temuliiko kye munenyezebwa mu kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)