2 Corinthians 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno newandibadde nga nabawandiikira ebbaluwa, teyawandiikibwa lwa kubeera oli eyasobya, oba oli gwe baasobya, wabula nti okutulumirwa kwe mutulumirwamu kuboolekebwe mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale newaakubadde nga nabawandiikira ssawandiika ku lw’oyo eyakola ekibi, newaakubadde oyo gwe bakikola, wabula lwa kunyiikira kwammwe eri Katonda ku lwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi, newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale newaakubadde nga nabawandiikira ebbaluwa eyo, saagiwandiika lw'oyo eyakola ekibi, oba olw'oyo eyakolwa ekibi, wabula nagiwandiika lwa kukakasa mu maaso ga Katonda nti mutulumirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi; newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda.