2 Corinthians 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ensonga eyo tukubagiziddwa. Ku kukubagizibwa okwo tugasseeko n'okusanyuka olw'essanyu Tito lye yafuna, kubanga mwenna mwamukakkanya omutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ebyo byatuzzaamu endasi. Bwe twaddamu endasi, tweyongera nnyo okusanyuka olw’essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyetwava tusanyusibwa; ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga mmwe mwenna mwawummuza omwoyo gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo twaddamu amaanyi. Ne mu kuddamu amaanyi, tweyongera okusanyuka ennyo olw'essanyu lya Tito, mmwe mwenna gwe mwawonya okweraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyetwava tusanyusibwa: ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna.