2 Corinthians 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga namulaga bwe mbenyumirizaamu, sikwatiddwa nsonyi; bye twabatendamu ewa Tito byeraze nga bituufu kyenkana nga buli kyonna kye twali tubagambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga nnenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe, temwanswaza, naye byonna nga bwe twabibategeeza bwe biri eby’amazima, era n’okwenyumiriza kwaffe ku Tito nakwo ne kuba kwa mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe mba nga nabatenda nnyo gy'ali, temwanswaza. Kuba nga byonna bye twabategeeza bwe biri eby'amazima, n'okubatenda eri Tito kweragira ddala nga kwa mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima.