2 Corinthians 7:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwe gweyongedde okubaagala ng'ajjukira nga mwenna bwe mwamuwulira, era nga bwe mwamwaniriza mu kutya n'okukankana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okwagala kw’alina kweyongera nnyo gye muli ng’ajjukira okugonda kwammwe mwenna, nga bwe mwamusembeza n’okutya n’okumussaamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli, ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era naye olw'okujjukira nga bwe mwamussaamu ennyo ekitiibwa, yeeyongedde nnyo okubaagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli, ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana.