2 Corinthians 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino sibyogera lwa kubavunaana, anti nagambye dda nti mutuli ku mwoyo; tuli ffenna mu bulamu ne mu kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino sibyogera ng’abasalira omusango, kubanga nabategeeza dda nti, Mulina ekifo mu mitima gyaffe, nga tubeera balamu ffenna era nga tufiira wamu nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Soogedde kubanenya, kubanga nayogedde dda nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo sibyogedde lwa kubanenya. Nagambye dda nti muli baagalwa baffe, abali naffe bulijjo mu kufa, oba mu bulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Soogedde kubanenya: kubanga edda nnayogera nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe.