2 Corinthians 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe twajja e Masedoniya, tetwafuna kuweerako, ne tulaba ennaku buli wantu: ebweru nga ndasano, munda nga kutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe twatuuka mu Makedoniya tetwasobola kuwummulako, nga twetooloddwa ebibonoobono ebya buli ngeri, ebweru nga waliyo entalo ate munda mu ffe nga tutidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne bwe twatuuka mu Makedooniya, tetwawummula n'akatono. Twabonaabona eruuyi n'eruuyi: twali twetooloddwa ennyombo, era ng'emitima gyaffe gyeraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.