2 Corinthians 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda akubagiza abanaku, yatukubagiza naffe n'okujja kwa Tito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda agumya abo ababa batendewereddwa, n’atuzzaamu amaanyi olw’okutuuka kwa Tito.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye asanyusa abasobeddwa, ye Katonda, n'atusanyusa ffe, olw'okujja kwa Tito.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda asanyusa abasobeddwa, yatusanyusa olw'okujja kwa Tito.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye asanyusa abawombeefu ye Katonda, n'atusanyusa ffe, olw'okujja kwa Tito;