2 Corinthians 7:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nandibadde mu bbaluwa yange nabanakuwaza, sejjusa, newandibadde nga mu kusooka nejjusa; ndaba ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, yadde akabanga kaali katono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuba bwe kiba nga ddala ebbaluwa gye nnabawandiikira yabanakuwaza, sikyejjusa; wabula ddala nkyejjusa, kubanga ebbaluwa eyo yabanakuwazaamu ekiseera kitono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga nnamala okwejjusa; kubanga ndabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza akaseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nga nabanakuwaza mu bbaluwa yange, ssejjusa. Weewaawo nejjusa kubanga nalaba nti ebbaluwa eyo yabanakuwaza okumala akaseera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga namala okwejjusa; kubanga ndabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza kaseera.