2 Corinthians 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati ndi musanyufu, si kubanga nabanakuwaza, naye olw'okubeera nti okunakuwala kwammwe kwavaamu okwenenya. Mwanakuwala nga Katonda bw'ayagala, ne tutabaako kye twabafiiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano nnina essanyu, si lwa kubanga yabanakuwaza, naye lwa kubanga mwanakuwalira ekibi ne mwenenya, ne Katonda n’alaba okunakuwala kwammwe muleme okufiirwa ekigambo kyonna ku lwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano nsanyuka, si lwa kuba nga nabanakuwaza, naye kubanga okunakuwala kwammwe kwabaviiramu okwenenya. Okunakuwala okwo Katonda yakusiima, n'olwekyo tetulina kye twabafiiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe.