2 Corinthians 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, ka tubabuulire eneema ya Katonda eyaweebwa Ekleziya z'e Masedoniya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda kye yalaga ekkanisa ez'e Makedoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, twagala mumanye ekisa Katonda kye yakwatirwa ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Makedooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa mu kkanisa ez'e Makedoni;