2 Corinthians 8:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbawa n'amagezi ku kino, nti mujja kuganyulwa singa omulimu gwe mwatandika omwaka guli, temugukola bukozi kyokka, wabula ate nga mugattako n'omutima ogwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku nsonga eno mbawa amagezi, kisingako kaakano okumaliriza kye mwatandika omwaka gumu ogwayita, sso si kukola kwokka, era naye n'okwagala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagezi ge mbawa ku kino, kwe kumaliriza ekyo kye mwatandika omwaka ogwayita. Mmwe mwasinga, si mu kukola kwokka, naye ne mu kusanyukira kye mukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mbagambye kye ndowooza olw'ekyo: kubanga kibasaanira mmwe, abaasooka okutanula, si kukola kwokka, era naye n'okwagala, nga mwakamala omwaka gumu.