2 Corinthians 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwagala bwe kubaawo, kusiimibwa okusinziira ku oli ky'alina, naye si ku oli ky'atalina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga waliwo kye mwagala okukola, kikkirizibwa okusinziira ku muntu kyalina, sso si ekyo kyatalina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuba oba nga mwegomba okubaako kye muwaayo, Katonda akkiriza ekyo kye mulina, sso si ekyo kye mutalina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng'omuntu bw'alina, si nga bw'atalina.