2 Corinthians 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati ebibafikkiridde bidduukirire abatalina, nabo ebiriba bibafikkiridde olumu biribayamba; olwo okwenkanankana lwe kubaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wabula olw'okwenkanankana, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, bibayambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biribayamba mmwe mu kwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'obwenkanya, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, biyambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biriyamba mmwe mu kwetaaga kwammwe, walyoke wabeewo okwenkanankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wabula olw'okwenkanankana, okusukkirira kwammwe kuweereze okwetaaga kwabwe kaakano mu biro bino, era n'okusukkirira kwabwe kulyoke kuweereze okwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo: