2 Corinthians 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe baawandiika nti: “Eyakuŋŋaanya ennyingi teyamuyitirira, n'eyakuŋŋaanya entono teyajula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyakuŋŋaanya ebingi, tebyamuyitirirako, n'eyakuŋŋaanya ebitono, yafuna ebimumala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe kyawandiikibwa nti Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.