2 Corinthians 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe twamusaba, yakkiriza; ate naye olw'okubeera omujjumbize, ajja gye muli ku lulwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, n’olw’okufuba kwe, yajja gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga teyakoma ku kukkiriza bukkirizza kye twamusaba, naye kennyini mukufuba ajja gye muli ku bubwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teyakoma ku kukkiriza bukkiriza kye twamusaba, wabula naye yennyini yali mwetegefu, era ajja kujja gye muli nga yeeyagalidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okukkiriza akkirizza okubuulirira kwaffe; kubanga naye yennyini alina okufuba okungi, asitula okugenda gye muli nga yeetuma.