2 Corinthians 8:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si ekyo kyokka, naye era yalondebwa Ekleziya atambulenga naffe ku mulimu guno ogw'ekisa gwe tuliko olw'ekitiibwa ky'Omukama n'okulaga omutima gwaffe ogwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olw’ekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini n’olw’okugulumiza n’okulaga nga bwe twetegese okuyamba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sso si ekyo kyokka, era naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe, Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage n'okwagala kwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekirala, ebibiina by'abakkiriza Kristo bimulonze okutuwerekera n'okutuyamba mu mulimu guno ogw'ekisa, gwe tukola olw'okuweesa Katonda ekitiibwa n'okulaga bwe twagala okuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so si ekyo kyokka, era so naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage okwagala kwaffe amangu: