2 Corinthians 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebizibu bye baalimu mu kulumwa, essanyu lyabwe eggitirivu, ssaako obwavu bwabwe obungi, byazaalukukamu obugagga obw'omutima gwabwe omugabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kugezebwa kwabwe, nga baabonyaabonyezebwa ennyo, essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwassuka, byombi byajjuzibwa okugaba kwabwe okwanjulukufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kugezebwa kwabwe, nga babonyaabonyezebwa ennyo, baafuna essanyu lingi, ne libaleetera okugaba nga tebeebalira, newaakubadde nga baavu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu kubonaabona okwabakema ennyo essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwayinga obungi byasukkirira mu bugagga obw'obugabi bwabwe.